Exodus 21:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Singa etomera omuddu oba omuzaana, nnannyiniyo ateekwa okusasula mukama we sekeli amakumi asatu, n'ente eneekubwanga amayinja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Seddume bw’etomeranga omuddu omusajja oba omuddu omukazi, nannyini yo ateekwa okusasula mukama w’omuddu oyo, ebitundu bya ffeeza amakumi asatu, ne seddume ekubwenga amayinja efe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ente bw'etomeranga omuddu oba muzaana; awangayo eri mukama waabwe ebitundu eby'effeeza asatu (30), era n'ente ekubibwanga amayinja.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ente bw'eneetomeranga omuddu, oba omuzaana n'emutta, nnannyini nte anaasasulanga nnannyini muddu oba muzaana, ebitundu amakumi asatu ebya ffeeza, era ente eneekubibwanga amayinja n'ettibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ente bw'etomeranga omuddu oba muzaana; awangayo eri mukama waabwe ebitundu eby'effeeza amakumi asatu, era n'ente ekubibwanga amayinja.