Exodus 21:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye oba kimanyiddwa ng'ente eyo yali ntomezi mu kusooka, nnannyiniyo n'atagikuuma, ateekwa okuzzaawo ente mu kifo ky'ente ettiddwa, eri enfu n'eba yiye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oba singa seddume eyo ng’emanyiddwa nga ntomezitomezi, naye nannyini yo nga tagiggalira mu lugo lwayo, ateekwa asasule seddume olwa seddume, yo enfu eneebanga yiye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oba bwe kimanyibwanga ng'ente ntomezi nnannyiniyo n'atagisiba; talemanga kuliwa ente olw'ente, n'ekisolo ekifudde kibeeranga kikye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe kinaamanyikanga ng'ente yamanyiira okutomeranga, nnannyiniyo n'atagisiba, anaaliwanga ng'awaayo ente ennamu, kyokka eyo efudde n'eba yiye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oba bwe kimanyibwanga nti ente yamanyiira okutomeza amayembe edda, nannyiniyo n'atagisiba; talemanga kuliwa ente olw'ente, n'ekisolo ekifudde kibeeranga kikye.