Exodus 21:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mukama we oba yamuwa omukazi n'amuzaalira abaana abalenzi n'abawala, omukazi n'abaana banaabanga ba mukama we; ye agendanga yekka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama we bw’abanga amuwadde omukazi, n’amuzaalira abaana aboobulenzi n’aboobuwala; omukazi n’abaana babanga ba mukama wa muddu oyo; omusajja yekka ye yaddizibwanga eddembe lye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama we bw'amuwanga omukazi n'amuzaalira abaana ab'obulenzi oba abaana ab'obuwala; omukazi n'abaana be balibeera ba mukama we, naye agendanga omu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama we bw'aba nga ye yamuwa omukazi, n'amuzaalira abaana ab'obulenzi oba ab'obuwala, omukazi n'abaana be baliba ba mukama we, era omusajja anaagendanga bwomu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama we bw'amuwanga omukazi n'amuzaalira abaana ab'obulenzi oba abaana ab'obuwala; omukazi n'abaana be balibeera ba mukama we, naye agendanga omu.