Exodus 22:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ekirayiro ew'Omukama kye kinaasalangawo wakati w'enjuyi zombi oba ng'eyateresebwa yakwata ku kintu ky'omulala oba nedda. Nnannyinikyo anakkirizanga ekirayiro, n'oli taaliwenga kantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omuntu bw’anaateresanga munne endogoyi, oba ente, oba endiga, oba ensolo endala yonna; n’emala efa, oba n’erumizibwa, oba n’etwalibwa nga tekitegeerekese agitutte,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omuntu bw'ateresanga munne endogoyi, oba ente, oba endiga, oba nsolo yonna; nayo n'emala efa, oba n'erumizibwa, oba n'ebbibwa nga tewali muntu alaba;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omuntu bw'anakkirizanga okukuumira munne endogoyi, oba ente, oba endiga, oba ensolo endala, ensolo eyo n'efa oba n'etuukibwako akabi, oba n'enyagibwa nga tewali akiwaako bujulizi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu bw'ateresanga munne endogoyi, oba nte, oba ndiga, oba nsolo yonna; nayo n'emala efa, oba kufaafaagana, oba okugobebwa nga tewali muntu alaba: