Exodus 22:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye oba ng'ekisolo kyamubbibwako, ateekwa okuwa nnannyinikyo engassi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ensonga zaabwe zinaagonjoolwanga nga eyatereka alayidde mu maaso ga Mukama nti ensolo eyo si ye yagibba. Nannyini nsolo ateekwanga okukkiriza ekirayiro ekyo, era taasasulwenga kintu kyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ekirayiro kya Mukama kibeeranga wakati waabwe bombi, oba nga teyateeka mukono gwe ku bintu bya munne; nnannyiniyo akikkirizanga, so taliwanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
anaagendanga n'alayirira mu Ssinzizo nga teyabba nsolo ya munne. Nnannyiniyo anakkirizanga, era munne taaliwenga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ekirayiro kya Mukama kibeeranga wakati waabwe bombi, nga teyateeka mukono gwe ku bintu bya munne; nannyiniyo akikkirizanga, so taliwanga.