Exodus 22:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omuntu bwe yeeyazika ekisolo ku mulala, ne kimenyeka oba ne kifa nga nnannyinikyo taliiwo, eyakyeyazika ateekwa okuliwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’eneebanga erumbiddwa ensolo enkambwe n’etaagulwataagulwa, anaaleetanga ebitundutundu byayo ebisigaddewo ng’obujulizi; taaliwenga nsolo etaaguddwataaguddwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'etaagulwataagulwanga, agireetanga ebe omujulirwa; tamuliyiranga olw'etaaguddwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'enettibwanga ensolo enkambwe, anaaleetanga ebitundu ebisigaddewo okukakasa. Taaliwenga olw'eyo ettiddwa ensolo enkambwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'etaagulwataagulwanga, agireetanga ebe omujulirwa; tamuliyiranga olw'etaaguddwa.