Exodus 22:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye obanga nnannyinikyo abadde waali, ne kifa, eyeeyazika taaliwenga kantu. Nnannyinikyo bw'aba nga yali akipangisizza bupangisa, ssente ez'okukipangisa anaazifunanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omuntu bw’aneeyazikanga ensolo ku muliraanwa we, n’erumizibwa, oba n’emufaako nga nnyini yo taliiwo, anaateekwanga okugisasulira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era omuntu bw'asabanga ekintu eri munne, ne kyonooneka, oba ne kifa, nga nnannyinikyo taliiwo, talemanga kumuliyira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omuntu bw'aneeyazikanga ensolo ku muntu omulala, ensolo eyo n'etuukibwako akabi, oba n'efa, nga nnannyiniyo taliiwo, anaamuliyiranga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omuntu bw'asabanga ekintu eri munne, ne kyonooneka, oba ne kifa, nga taliiwo nannyinikyo, talemanga kumuliyira.