Exodus 22:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kitaawe bw'agaaniranga ddala okumumuwa, omusenzisenzi anaasasulanga omuwendo gwa ssente ogwenkana omutwalo oguwasa omuwala embeerera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omusajja bw’anaasendasendanga omuwala omuto akyali embeerera, ne yeebaka naye, atwalengayo ebintu ebyobuko, amuwase.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era omuntu bw'asendasendanga omuwala omuto atannayogerezebwa n'amala amwonoona, talemanga kuliwa bintu eby'obuko ku lulwe alyoke abeere mukazi we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omusajja bw'anaasendasendanga omuwala embeerera atannayogerezebwa, n'amwonoona, anaawangayo ebintu eby'obuko, omuwala oyo alyoke abe mukazi we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omuntu bw'asendasendanga omuwala omuto atannayogerezebwa n'amala amwonoona, talemanga kuliwa bintu eby'obuko ku lulwe alyoke abeere mukazi we.