Exodus 22:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukazi omulogo, tomulekanga kulama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye singa kitaawe w’omuwala agaanira ddala okumumuwa, era asasulangayo omuwendo gw’ensimbi ogwenkanankana n’eby’obuko ebiweebwayo ku mbeerera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kitaawe bw'anaaganiranga ddala okumumuwa, aliwanga ku muwendo ogw'okwogereza abawala abato.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kitaawe w'omuwala bw'anaagaananga okumumuwa, omusajja anaaliwanga ebintu ebyenkanankana n'ebyo ebiweebwayo okwogereza omuwala embeerera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kitaawe bw'agaaniranga ddala okumumuwa, aliwanga ku muwendo ogw'okwogereza abawala abato.