Exodus 22:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Tobonyaabonyanga mugwira wadde okumutulugunya, anti nammwe mwennyini mwaliko abagwira mu nsi y'e Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omuntu atwalanga ssaddaaka eri katonda omulala, atali nze Mukama, azikirizibwenga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Awangayo ssaddaaka eri katonda yenna, wabula eri Mukama yekka, azikiririzibwanga ddala.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Buli muntu anaawangayo ekitambiro eri balubaale, n'atakiwa nze nzekka Mukama, anaazikirizibwanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awangayo ssaddaaka eri katonda yenna, wabula eri Mukama yekka, azikirizibwanga ddala.