Exodus 22:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Singa wabaawo gw'owola ssente, omunaku mu bantu bange b'oli nabo, tomuwolanga ng'omuwozi wa ssente bw'akola, tomusabanga magoba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obusungu bwange ne bubuubuuka, mmwe ne mbatta n’ekitala. Bakyala bammwe ne bafuuka bannamwandu n’abaana bammwe bamulekwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era obusungu bwange bulyaka nnyo, nange nnaabattanga n'ekitala; ne bakazi bammwe baliba bannamwandu, n'abaana bammwe bamulekwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era mmwe nnaabasunguwaliranga nnyo, ne mbattira mu lutalo, ne bakazi bammwe ne bafuuka bannamwandu, n'abaana bammwe ne baba bamulekwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era obusungu bwange bulyaka nnyo, nange naabattanga n'ekitala; ne bakazi bammwe baliba bannamwandu, n'abaana bammwe bamulekwa.