Exodus 22:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Anti kye ky'okwebikka kyokka ky'alina, ekizibawo ky'abikkirira omubiri gwe; ate aneebaka mu ki? Bw'anankowoola, nzija kumuwulira, kubanga ndi musaasizi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’otwalanga ekyambalo ky’omuntu ng’akakalu, kimuddize ng’enjuba egenda okugwa;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'osingirwanga ekyambalo kya munno, okimuddizanga ng'enjuba tennagwa;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munno bw'anaakusingiranga ekyambalo kye, okimuddizanga ng'enjuba tennagwa,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'osingirwanga ekyambalo kya munno, omuddizangayo enjuba nga tennagwa: