Exodus 22:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Tovumanga Katonda era toyogeranga bubi ku mufuzi w'abantu bo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga ekyambalo kye ekyo kye ky’okwebikka kye kyokka ky’alina. Kale bw’otokimuddiza olwo asule mu ki? Bw’anankaabiriranga nzijanga kumuwuliriza, kubanga ndi wa kisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga ekyo kye kimubikka kyokka, kye kyambalo kye eky'omubiri gwe; aneebikka ki? Awo, bw'anankaabiranga, nnaawuliranga; kubanga nnina ekisa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga kye kyokwebikka kyokka ky'alina ekimubugumya. Kiki ekirala ky'aneebikka? Bw'anansabanga okumuyamba, nnaamuyambanga, kubanga ndi musaasizi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga ekyo kye kimubikka kyokka, kye kyambalo kye eky'omubiri gwe: aneebikka ki? awo, bw'anankaabiranga, naawuliranga; kubanga nnina ekisa.