Exodus 22:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Onookolanga kye kimu ku nte zo ne ku ndiga zo. Ekiggulanda kisigalanga ne nnyina waakyo ennaku musanvu, ku lunaku olwomunaana ne mukimpa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tolwangawo kuwaayo ku bibala ebibereberye nga byengedde. “Mutabani wo omubereberye onoomumpanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Tolwanga kuwaayo ku bungi obw'ebibala byo n'envinnyo yo. Omubereberye mu baana bo omumpanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Tolwangawo kuntonera birabo ku bibala by'obazizza, ne ku mwenge gwo ogw'emizabbibu. “Omuggulanda mu baana bo omumpanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tolwanga kuwaayo ku bungi obw'ebibala byo n'envinnyo yo. Omubereberye mu baana bo omumpanga.