Exodus 22:3 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensolo gy'abbye bwe bamukwatanga nayo olubona nga nnamu, oba nte oba endogoyi oba endiga, asasulanga emirundi ebiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye singa ebyo bigwawo ng’enjuba emaze okuvaayo, anaabangako omusango olw’okuyiwa omusaayi ogwo. Omubbi anaateekwanga okuliwa; naye bw’abanga talina kantu, anaatundibwanga alyoke asasulire bye yabba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oba enjuba bw'eba ng'evuddeyo ku ye, wabanga omusango ogw'omusaayi ku lulwe, kimugwanidde okuliwa; oba nga talina kintu, atundibwanga olw'okubba kwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oba enjuba bw'eba ng'evuddeyo ku ye, wabanga omusango ogw'omusaayi ku lulwe: kimugwanidde okuliwa; oba nga talina kintu, atundibwanga olw'okubba kwe.