Exodus 22:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mubeeranga bantu bange batukuvu. Ennyama y'ensolo etaaguliddwa ku ttale temugiryanga, mugisuuliranga mbwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ente zo n’endiga zo nazo onookolanga bw’otyo. Onoozirekeranga bannyina baazo okumala ennaku musanvu; onoozimpanga ku lunaku olw’omunaana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'otyo bw'onookolanga era n'ente zo, n'endiga zo: ennaku musanvu ebeeranga ne nnyina waayo; ku lunaku olw'omunaana ogimpanga nze.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Onookolanga kye kimu ne ku nte zo, ne ku ndiga zo. Ennume nnyina waayo gy'esookerako okuzaala, eneemalanga ennaku musanvu ne nnyina waayo, ku lunaku olw'omunaana n'ogimpa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'otyo bw'onookolanga era n'ente zo, n'endiga zo: ennaku musanvu ebeeranga ne nnyina waayo; ku lunaku olw'omunaana ogimpanga nze.