Exodus 22:31 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mujjanga kuba bantu bange batukuvu. Noolwekyo temuulyenga nnyama ya nsolo etaaguddwataaguddwa ebisolo eby’omu nsiko. Munaagirekeranga mbwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era munaabanga abantu abatukuvu gye ndi; kyemunaavanga mulema okulya ku nnyama ensolo gye zisse mu nsiko; mugisuuliranga embwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Munaabanga bantu bange abatukuvu. N'olwekyo temuulyenga nnyama ya nsolo ettiddwa ensolo enkambwe. Munaagisuuliranga mbwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era munaabanga abantu abatukuvu gye ndi: kyemunaavanga mulema okulya ku nnyama ensolo gye zisse mu nsiko; mugisuuliranga embwa.