Exodus 22:4 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omuntu bw'atwalanga ebisolo bye ku ttale oba mu nnimiro y'emizabbibu okulya, amala abireka okuliira mu nnimiro y'omulala, anaaliwanga ng'aggya ku kitundu ky'ennimiro ye oba emizabbibu gye ekisingira ddala obulungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omubbi singa akwatibwa lubona nga n’ensolo gy’abbye agirina nnamu, oba nte, oba ndogoyi oba ndiga, anazzangawo bbiri bbiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kye yabba bwe kirabikanga mu mukono gwe nga kikyali kiramu, oba nte, oba ndogoyi, oba ndiga; azzangawo bbiri.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kye yabba bwe kirabikanga mu mukono gwe nga kikyali kiramu, oba nte, oba ndogoyi, oba ndiga; azzangawo bbiri.