Exodus 22:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Oli bw'abanga ateresezza omulala ssente oba ebintu, bimala bibbirwa mu nnyumba ye, singa omubbi asobola okukwatibwa, anaateekwanga okusasula emirundi ebiri;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omuliro bwe gunaalandanga ne guyita mu bisaka ne gukwata ennimiro y’omuntu, ne gwokya ebinywa by’eŋŋaano, oba eŋŋaano ekyakula, oba ne guzikiriza ennimiro ye yonna; eyakumye omuliro ogwo anaasasuliranga byonna ebyonoonese.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omuliro bwe gulandanga ne gwokya emitwalo gye ŋŋaano oba eŋŋaano ng'ekyamera oba nnimiro, ne bimala bisiriira; akumanga omuliro, talemanga kuliwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omuntu bw'anaakoleezanga omuliro ne gulanda, ne gukwata ennimiro y'omuntu omulala, ne gwokya eŋŋaano ekyakula oba ne gwokya ennimiro yonna, oyo eyakoleezezza omuliro ogwo anaaliwanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuliro bwe gwakanga ne gulinnya mu maggwa, emitwalo gy'eŋŋaano oba eŋŋaano ng'ekyamera oba nnimiro ne bimala bisiriira; akumanga omuliro, talemanga kuliwa.