Exodus 22:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu buli nsonga edda ku misango gy'ente, endogoyi, endiga, ekyambalo, oba ekintu kyonna ekibuze omu ky'agamba nti: ‘Kino kyange,’ enkaayana zaabwe zinaaletebwanga mu maaso ga Katonda, Katonda gw'anaasingisanga omusango, anaasasulanga omulala emirundi ebiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omubbi bw’ataakwatibwenga, nannyini nnyumba ateekwa agende eri abalamuzi, basalewo obanga ebintu bya munne ye yabitutte.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omubbi bw'atalabikanga, nannyini nnyumba asembereranga Katonda, okulaba oba nga teyateeka mukono gwe ku bintu bya munne.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omubbi bw'anaabanga tazuuliddwa, nnannyini nnyumba anaaleetebwanga mu Ssinzizo n'alayira nga teyabba bintu bya munne.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omubbi bw'atalabikanga, nannyini nnyumba asembereranga Katonda, okulaba oba nga teyateeka mukono gwe ku bintu bya munne.