Exodus 22:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Oba omuntu yasibira ewa munne endogoyi, ente, endiga oba ekisolo ekirala kyonna, kimala kifa oba ne kimenyeka, oba ne kitwalibwa awatali mujulirwa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu buli misango gyonna egy’okubeera n’ebintu mu ngeri emenya amateeka, ng’okubeera n’ente, oba endogoyi, oba endiga, oba ekyambalo, oba ekintu ekirala kyonna ekinaabanga kibuze, omuntu n’amala akyogerako nti, ‘Kino kyange,’ omuntu akirina n’oyo akiyita ekikye banaatwalanga ensonga zaabwe eri abalamuzi. Oyo abalamuzi gwe banaasaliranga nti gumusinze, anaddizangawo munne emirundi ebiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe wabangawo okukaayana olw'ebintu oba olw'ente, oba olw'endogoyi, oba olw'endiga, oba olw'engoye, oba olwa buli kibuze, omuntu ky'ayogerako nti, ‘Kye kino,’ ensonga ey'abo bombi ereetwanga eri Katonda; oyo Katonda gw'asaliranga omusango, aliwanga emirundi ebiri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Buli nkaayana ku bintu, oba ku nte, oba ku ndogoyi, oba ku ndiga, oba ku ngoye, oba ku kintu ekirala kyonna ekibuze, bombiriri abakikaayanira banaaleetebwanga mu Ssinzizo. Oyo Katonda gw'anaasaliranga omusango okumusinga, anaaliyiriranga munne emirundi ebiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga buli kigambo eky'okwonoona, oba olw'ente, oba olw'endogoyi, oba olw'endiga, oba olw'engoye, oba olwa buli kibuze, omuntu ky'ayogerako nti Kye kino, ensonga ey'abo bombi ereetwanga eri Katonda; oli Katonda gw'asaliranga omusango aliwanga emirundi ebiri.