Exodus 23:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye omwaka ogwomusanvu ogiwummuzanga, n'ogireka n'ezika, abaavu mu ggwanga lyo nabo balye; ekiribanga kisigaddemu ebisolo eby'ettale nabyo biryeko. Bw'otyo bw'okolanga n'ennimiro zo ez'emizabbibu n'ez'oliva.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye mu mwaka ogw’omusanvu ettaka olirekanga ne liwummula, abaavu mu mmwe basobolenga okulya ku mmere okuva mu bimererezi; eneefikkangawo ebisolo by’omu nsiko binaagiryanga. Era bw’otyo bw’onookolanga n’ennimiro zo ez’emizabbibu n’ez’emizeeyituuni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omwaka ogw'omusanvu ogiwummuzanga ereme okubeera n'emirimu; abaavu ab'omu bantu bo balyoke balye; gye balekangawo ensolo ey'omu nsiko egiryanga. Bw'otyo bw'onookolanga olusuku lwo olw'emizabbibu, n'olw'emizeeyituuni.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mu mwaka ogw'omusanvu, ogiwummuzanga n'otogirima, abaavu mu mmwe balyoke balyenga ebikulamu. Bye baleseewo, ensolo ez'omu ttale zinaabiryanga. Bw'otyo bw'onookolanga n'ennimiro yo ey'emizabbibu, n'ey'emizayiti.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye omwaka ogw'omusanvu ogiwummuzanga ereme okubeera n'emirimu; abaavu ab'omu bantu bo balyoke balye: gye balekangawo ensolo ey'omu nsiko egiryanga. Bw'otyo bw'onookolanga olusuku lwo olw'emizabbibu, n'olw'emizeeyituuni.