Exodus 23:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Okoleranga ennaku mukaaga, ku lwomusanvu n'owummula, ente yo n'endogoyi nabyo biwummuleko, omwana w'omuzaana wo n'ow'omugwira nabo baweereko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mu nnaku omukaaga mw’okoleranga emirimu gyo, naye ku lunaku olw’omusanvu tokolanga, ente yo n’endogoyi yo ziryoke zisobole okuwummulako; ne mutabani w’omuweereza wo, ne munnaggwanga ali mu maka go bawummuleko baddemu endasi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ennaku omukaaga kolanga emirimu gyo, ne ku lunaku olw'omusanvu wummulanga; ente yo n'endogoyi yo ziryoke ziwummule, n'omwana ow'omuzaana wo, ne munnaggwanga bafune amaanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mu nnaku mukaaga, okolanga emirimu gyo, naye ku lunaku olw'omusanvu, owummulanga, abaddu bo n'abagwira abakukolera balyoke bawummule, era n'ente zo n'endogoyi zo nazo ziwummule.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ennaku omukaaga kolanga emirimu gyo, ne ku lunaku olw'omusanvu wummulanga: ente yo n'endogoyi yo ziryoke ziwummule, n'omwana ow'omuzaana wo, ne munnaggwanga bafune amaanyi.