Exodus 23:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Embaga enkulu ey'Emigaati Egitazimbulukuse ogikuzanga. Omalanga ennaku musanvu ng'olya migati egitazimbulukuse nga bwe nakikugamba mu kadde akalagiddwa mu mwezi gwa Abibu, kubanga mu mwezi guno lwe wava mu Misiri. Tewabanga alabika mu maaso gange ngalo nsa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Onookolanga Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse. Onoolyanga omugaati ogutaliimu kizimbulukusa okumala ennaku musanvu, nga bwe nakulagira. Kino okikolanga mu kiseera ekyategekebwa, mu mwezi gwa Abibu, kubanga mu mwezi ogwo mwe waviira mu nsi y’e Misiri. “Tewabangawo ajja gye ndi engalo ensa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Embaga ey'emigaati egitazimbulukusiddwa ogyekuumanga; ennaku musanvu olyanga egitazimbulukusiddwa nga bwe nnakulagira, mu biro ebyateekebwawo mu mwezi gwa Abibu, kubanga mu ogwo mwe mwaviira mu Misiri; so temulabikanga ngalo nsa mu maaso gange n'omu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munaakuzanga Embaga ey'Emigaati egitazimbulukusiddwa. Okumala ennaku musanvu munaalyanga migaati egitazimbulukusiddwa, nga bwe nabalagira mu kiseera ekyateekebwawo mu mwezi gwa Abibu, kubanga omwezi ogwo gwe mwaviiramu mu Misiri. Tewabanga n'omu ajja ngalo nsa okunsinza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa ogyekuumanga: ennaku musanvu olyanga egitazimbulukuswa, nga bwe nnakulagira, mu biro ebyateekebwawo mu mwezi gwa Abibu (kubanga mu ogwo mwe mwaviira mu Misiri); so temulabikanga busa mu maaso gange n'omu: