Exodus 23:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuzanga n'Embaga ey'Amakungula g'ebibala ebisookera ddala ku ebyo bye wateganira ng'osiga mu nnimiro. Era n'Embaga ey'Okukuŋŋaanya ku nkomerero y'omwaka, lw'okuŋŋaanya bye wateganira mu nnimiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Onookolanga Embaga ey’Amakungula ey’ebibala ebibereberye eby’ebirime bye wasiga mu nnimiro yo. “Onookolanga Embaga ey’Amayingiza buli nkomerero ya mwaka, bw’onookuŋŋaanyanga ebibala by’omu nnimiro, n’obiyingiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era embaga ey'okunoga ebibala ebibereberye eby'emirimu gyo, bye wasiga mu nnimiro; era embaga ey'okukungula ku nkomerero y'omwaka, bw'okungulanga emirimu gyo mu nnimiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Munaakuzanga Embaga ey'Amakungula, nga mutandika okukungula ebibala byammwe bye mwasiga mu nnimiro, era munaakuzanga Embaga ey'Ensiisira, ku nkomerero y'omwaka, bwe munaakungulanga ebibala mu nnimiro zammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era embaga ey'okunoga ebibala ebibereberye eby'emirimu gyo, bye wasiga mu nnimiro: era embaga ey'okukungula ku nkomerero y'omwaka, bw'okungulanga emirimu gyo mu nnimiro.