Exodus 23:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ebibala ebisooka ebisinga obulungi eby'ettaka lyo obitwalanga mu nnyumba y'Omukama Katonda wo. Tofumbiranga kabuzi mu mata ga nnyina waako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ebibala ebisinga obulungi mu ebyo ebisoose okuva mu ttaka lyo obitwalanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wo. Tofumbanga akaana k’embuzi mu mata ga nnyina waako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ebibereberye eby'ebisooka okubala eby'ensi yo, obireetanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wo.” “Tofumbiranga omwana gw'embuzi mu mata ga nnyina gwayo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebibala ebisooka okukungulwa mu nnimiro zammwe, mubireetanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wammwe. “Temuufumbirenga mbuzi nto mu mata ga nnyina waayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebibereberye eby'ebisooka okubala eby'ensi yo obireetanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wo. Tofumbiranga omwana gw'embuzi mu mata ga nnyina wagwo.