Exodus 23:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bw'olimuwulira obulungi n'okola buli kye ŋŋamba, abalabe bo nange ndiba mulabe waabwe, abakutulugunya nange ndibatulugunya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bw’onoowulirizanga eddoboozi lye, n’okola nga bwe ŋŋamba, kale nnaakyawanga abakukyawa, n’abalabe bo banaabanga balabe bange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bw'onoowuliriranga ddala eddoboozi lye, n'okolanga byonna bye njogera; bwe kityo naababeereranga omulabe abalabe bo, ndibaziyiza abakuziyiza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe munaawuliranga ne mukolanga byonna bye ndagira, nnaalwanyisanga abalabe bammwe bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bw'onoowuliriranga ddala eddoboozi lye, n'okolanga byonna bye njogera; bwe kityo naababeereranga omulabe abalabe bo, ndibaziyiza abakuziyiza.