Exodus 23:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tovunnamiranga balubaale baabwe, tobaweerezanga. Tokolanga nga bwe bakola, wabula balubaale obamerengulanga n'empagi zaabwe n'ozimenyawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tovuunamiranga bakatonda baabwe, so tobaweerezanga, era tokwatanga mpisa zaabwe, wabula obabetetaranga ddala, n’omenyaamenya n’empagi zaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tovuunamiranga bakatonda baabwe, so tobaweerezanga, so tokolanga ng'ebikolwa byabwe; naye olibasuulira ddala, era olimenyaamenya empagi zaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temuuvuunamirenga balubaale baabwe, wadde okubasinzanga, era temuukoppenga mpisa za bantu abo, naye muzikirizanga balubaale baabwe, ne mumenyaamenya n'empagi zaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tovuunamiranga bakatonda baabwe, so tobaweerezanga, so tokolanga ng'ebikolwa byabwe: naye olibasuulira ddala, era olimenyaamenya empagi zaabwe.