Exodus 23:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muweerezenga Omukama Katonda wammwe, lwe ndiwa omukisa emmere yammwe n'amazzi; ndibamalamu endwadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oweerezanga Mukama Katonda wo yekka, emmere yo n’amazzi go ndyoke mbiwe omukisa. Ndiggyawo endwadde mu mmwe;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era munaaweerezanga Mukama Katonda wammwe, era ndigiwa omukisa emmere yo n'amazzi go; nange ndiggyawo endwadde wakati wammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe munaasinzanga Nze Mukama Katonda wammwe, ndibawa omukisa, ne mufuna emmere n'amazzi, era ndibaggyako obulwadde bwammwe bwonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era munaaweerezanga Mukama Katonda wammwe, naye aligiwa omukisa emmere yo n'amazzi go; nange ndiggyawo endwadde wakati wammwe.