Exodus 23:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nsi yo temuliba avaamu lubuto, wadde omugumba. Ndijjuza omuwendo gw'ennaku z'obulamu bwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
tewaabengawo mugumba wadde avaamu olubuto. Ennaku z’obulamu bwo zonna nnaazituukirizanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewaliba kirivaamu olubuto, newakubadde ekigumba, mu nsi yo; omuwendo gw'ennaku zo ndigutuukiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu nsi yammwe tewaliba mukazi avaamu lubuto, oba aliba omugumba, era ndibawangaaza mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tewaliba kirivaamu olubuto, newakubadde ekigumba, mu nsi yo: omuwendo gw'ennaku zo ndigutuukiriza.