Exodus 23:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ndikukulembezaamu entiisa yange, abo bonna abajja okukulwanyisa ndibatabula n'abalabe bo bonna ne bakudduka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nnaasindikanga ekikangabwa mu mawanga agaagala okukwolekera, ne ntabulatabula abo bonna abanaakwegezangamu, era abalabe bo nnaabafuumuulanga emisinde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndisindika entiisa yange mu maaso go, ndibateganya abantu bonna b'olituukako, ndikukyusiza amabega gaabwe abalabe bo bonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nditiisa abantu ababeekiika mu maaso, nditabulatabula abantu bonna be mulwanyisa, era ndireetera abalabe bammwe bonna okukyuka babadduke mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ndisindika entiisa yange mu maaso go, ndibateganya abantu bonna b'olituukako, ndikukyusiza amabega gaabwe abalabe bo bonna.