Exodus 23:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndikukulembezaamu ennumba ne zigoba Omukivi, Omukanaani n'Omukitti mu maaso go.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndisindika ennumba ne zikukulembera, ne zigoba Abakiivi, n’Abakanani, n’Abakiiti ne bakuviira mu kkubo lyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndisindika ennumba mu maaso go, eziribagoba Omukiivi, n'Omukanani, n'Omukiiti, mu maaso go.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndisindika ennumba okubakulemberamu, ezirigoba Abahiivi, n'Abakanaani, n'Abahiiti nga mutuuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndisindika ennumba mu maaso go, eribagoba Omukiivi, n'Omukanani, n'Omukiiti, mu maaso go.