Exodus 23:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensalo zo nzija kuzissa: okuva ku Nnyanja ey'Ebiwuuwa okutuuka ku nnyanja y'Abafilisitiini, n'okuva ku ddungu okutuuka ku Mugga; bannansi b'omwo nzija kubawaayo mu mikono gyammwe, nzija kubagobawo we muli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ndisala ensalo zammwe okuva ku Nnyanja Emyufu okutuuka ku Nnyanja y’Abafirisuuti, n’okuva ku ddungu okutuuka ku Mugga Fulaati. Abantu b’omu nsi omwo ndibabawa, ne mubagobamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndissaawo ensalo yo okuva ku Nnyanja Emmyufu okutuuka ku nnyanja ey'Abafirisuuti, n'okuva mu ddungu okutuuka ku Mugga Fulaati; kubanga ndiwaayo mu mukono gwammwe abatudde mu nsi; naawe olibagoba mu maaso go.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nditeekawo ensalo z'ensi yammwe, okuva ku Nnyanja Emmyufu okutuuka ku nnyanja ey'Abafilistiya, n'okuva ku ddungu okutuuka ku Mugga Ewufuraate. Ndibawa obuyinza ku batuuze b'omu nsi eyo, era mulibagobamu nga mutuuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndissaawo ensalo yo okuva ku Nnyanja Emmyufu okutuuka ku nnyanja ey'Abafirisuuti, n'okuva mu ddungu okutuuka ku Mugga: kubanga ndiwaayo mu mukono gwammwe abatudde mu nsi; naawe olibagoba mu maaso go.