Exodus 23:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tebabeeranga mu nsi yo, sikulwa nga bakuleetera okunjeemera. Bw'oliweereza balubaale baabwe, ddala baliba mutego gy'oli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temubakkirizanga kubeera mu nsi yammwe, tebalwa kubanyoomesa biragiro byange; kubanga singa muweereza bakatonda baabwe muliba mugudde mu mutego.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tebatuulanga mu nsi yo, baleme okukwonoonya ku nze; kubanga bw'oliweereza bakatonda baabwe, tekirirema kukubeerera kyambika.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temulekanga bantu abo kubeeranga mu nsi yammwe, baleme kukola kibi mu maaso gange, kubanga bwe mulisinza balubaale baabwe, tekirirema kubasuula mmwe mu mutego.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tebatuulanga mu nsi yo, baleme okukwonoonya ku nze: kubanga bw'oliweereza bakatonda baabwe, tekirirema kukubeerera kyambika.