Exodus 23:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'olabanga endogoyi y'akukyawa ng'egudde, omugugu gwayo gugiguddeko, eky'okugireka okyewalanga, ogendanga n'ogimuyambako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’olabanga endogoyi y’omuntu atakwagala, ng’omugugu gugisudde wansi, togirekanga, naye omuyambangako okugiyimusa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'olabanga endogoyi y'oyo akukyaye ng'egudde wansi olw'obuzito bw'omugugu gwe yeetisse, tolemanga kumuyamba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'olabanga endogoyi y'omuntu akukyaye ng'egudde olw'obuzito bwe yeetisse, muyambe ogikwatireko eyimirire, toyitangawo buyisi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'olabanga endogoyi y'oyo akukyaye ng'egalamizibbwa wansi w'omugugu gwayo, bw'oyagalanga obutamuyamba, tolemanga kumuyamba.