Exodus 23:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obulimba obwekuumiranga wala. Tottanga ataliiko musango oba omutuukirivu, kubanga nze sigenda kwejjeereza mubi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Teweeyingizanga mu nsonga za bulimba, era tottanga muntu atalina kibi oba atazzizza musango, kubanga aliko omusango sigenda kumwejjeereza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Weewalanga ekigambo eky'obulimba, so tottanga atalina kabi n'omutuukirivu; sirifuula omubi okubeera omutuukirivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Weewalanga okwogera eby'obulimba. Atalina kabi na musango tomuttanga, kubanga buli akola ekibi, sirirema kumusalira musango kumusinga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weebalamanga mu kigambo eky'obulimba; so tomuttanga atalina kabi n'omutuukirivu: kubanga sirifuula omubi okubeera omutuukirivu.