Exodus 23:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tolyanga nguzi; kubanga enguzi eziba amaaso g'abalaba obulungi era egootaanya ensonga z'abatuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tolyanga nguzi, kubanga enguzi eziba omuntu amaaso n’ekyamya n’abatuukirivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era toweebwanga nguzi, kubanga enguzi eziba amaaso abatunula, ekyusa ebigambo by'abatuukirivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tokkirizanga kuweebwa nguzi, kubanga enguzi eziba abantu amaaso, ne batalaba kituufu, era ekyamya ebigambo by'abatalina musango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era toweebwanga kirabo: kubanga ekirabo kibaziba amaaso abatunula, kikyusa ebigambo by'abatuukirivu.