Exodus 24:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne balaba Katonda wa Yisirayeli; wansi w'ebigere bye waaliwo ekyali ng'omwaliiro gw'amayinja saffiro, nga gutukula ng'eggulu lyennyini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne balaba Katonda wa Isirayiri. Wansi w’ebigere bye nga waliwo ng’omwaliiro ogw’amayinja ga safiro, agalabika obulungi ng’eggulu eritaliiko bire.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne balaba Katonda wa Isiraeri; ne wansi w'ebigere bye ne waba ng'omulimu ogw'amayinja amaaliire aga safiro, agafaanana ng'eggulu lyennyini okutangaala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne balaba Katonda wa Yisirayeli. Wansi w'ebigere bye ne waba ng'omwaliiro ogw'amayinja aga safiro, nga ga bbululu omutangaavu ng'eggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne balaba Katonda wa Isiraeri; ne wansi w'ebigere bye ne waba ng'omulimu ogw'amayinja amaaliire aga safiro, agafaanana ng'eggulu lyennyini okutangaala.