Exodus 24:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye teyakola kabi konna bakungu b'Abayisirayeli. Baalaba Katonda, baalya ne banywa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Katonda teyakola kabi konna ku bakulembeze ba Isirayiri abo; Katonda baamulaba, ne balya era ne banywa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'atakola kabi ku bakulembeze abo aba Isiraeri abaalaba Katonda; ne balya era ne banywa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'atakola kabi ku bakulembeze abo aba Yisirayeli. Baalaba Katonda, ne balya era ne banywa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So ku bakungu b'abaana ba Isiraeri n'atateekako mukono gwe: ne bamulaba Katonda, ne balya ne banywa: