Exodus 24:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Musa nti: “Yambuka ku lusozi gye ndi obeere eno, nkuwe empande z'amayinja, etteeka n'ebiragiro, bye mpandiise olw'okubayigiriza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’agamba Musa nti, “Yambuka eno gye ndi ku lusozi, obeere wano olinde; nzija kukuwa ebipande eby’amayinja okuli amateeka g’empandiise ogayigirize abantu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Musa nti, “Linnya ku lusozi gye ndi, obeereyo; nange ndikuwa ebipande by'amayinja, okuli amateeka n'ebiragiro, bye mpandiise, obiyigirize abantu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Musa nti: “Yambuka ku lusozi gye ndi, era ng'oli eno, nja kukuwa ebipande eby'amayinja, okuli amateeka n'ebiragiro, bye mpandiise olw'okuyigiriza abantu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Musa nti Linnya gye ndi ku lusozi, obeereyo: nange ndikuwa ebipande by'amayinja, n'amateeka n'ekiragiro, bye mpandiise, obiyigirize.