Exodus 24:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba abakulu nti: “Mutulindirire wano okutuusa lwe tunadda. Mulina Aroni ne Kuru, bali nammwe; oyo aliko ensonga yonna abatuukirire.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agamba abakulembeze b’abantu nti, “Mugira mutulindako wano nga naffe bwe tukomawo. Mbalekedde Alooni ne Kuuli; buli anaaba n’ensonga yonna agende gye bali, bajja kugimumalira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'agamba abakadde nti, “Mutulindirire wano, okutuusa lwe tunaakomawo. Alooni ne Kuuli, bo basigale nammwe; buli alina ensonga yonna, agende gyebali.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'agamba abakulembeze nti: “Mutulindire wano, okutuusa lwe tunaakomawo gye muli. Arooni ne Kuri bali wamu nammwe. Buli alina enkaayana, agende gye bali.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba abakadde nti Mutulindirire wano, okutuusa lwe tulibajjira nate: ne Alooni ne Kuuli, laba, bali wamu nammwe: buli alina ensonga, asemberere bo.