Exodus 24:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekitiibwa ky'Omukama ne kibeera ku lusozi lwa Sinayi; ekire ne kirubikkira ennaku mukaaga. Ku lunaku olwomusanvu Omukama n'ayita Musa ng'ayima mu kire.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekitiibwa kya Mukama ne kibeera ku Lusozi Sinaayi. Ekire ne kibikka olusozi okumala ennaku mukaaga; ku lunaku olw’omusanvu Mukama n’ayita Musa ng’asinziira wakati mu kire.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekitiibwa kya Mukama ne kibeera ku lusozi Sinaayi, ekire ne kirubikkira ennaku mukaaga; ku lunaku olw'omusanvu Mukama n'ayita Musa ng'ayima wakati mu kire.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ekitiibwa kya Mukama ne kibeera ku Lusozi Sinaayi, ekire ne kirubikka okumala ennaku mukaaga. Ku lunaku olw'omusanvu, Mukama n'ayita Musa ng'asinziira mu kire wakati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekitiibwa kya Mukama ne kibeera ku lusozi Sinaayi, ekire ne kirubikkira ennaku mukaaga: ku lunaku olw'omusanvu n'ayita Musa ng'ayima wakati w'ekire.