Exodus 24:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku Bayisirayeli ekitiibwa ky'Omukama kyafaanana ng'omuliro ogusenkenya ku ntikko y'olusozi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana ba Isirayiri bwe baatunuulira ekitiibwa kya Mukama, ne kibalabikira ng’omuliro ogw’amaanyi ennyo ku ntikko y’olusozi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekifaananyi ky'ekitiibwa kya Mukama ne kiba ng'omuliro ogwaka ku ntikko y'olusozi mu maaso g'abaana ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitiibwa kya Mukama ne kifaananira Abayisirayeli ng'omuliro ogwakira ku ntikko y'olusozi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekifaananyi ky'ekitiibwa kya Mukama ne kiba ng'omuliro ogwaka ku ntikko y'olusozi mu maaso g'abaana ba Isiraeri.