Exodus 24:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa ne yeevumba ekire, n'alinnya ku lusozi, n'abeera eyo ennaku amakumi ana n'ebiro amakumi ana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’ayingira mu kire ng’agenda alinnyalinnya olusozi. Ku lusozi yamalako ennaku amakumi ana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'ayingira wakati mu kire ku lusozi, n'amalayo ennaku ana, emisana n'ekiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'ayita mu kire, n'ayambuka ku ntikko y'olusozi, n'amalayo ennaku amakumi ana emisana n'ekiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'ayingira wakati mu kire, n'alinnya ku lusozi: Musa n'amala ku lusozi ennaku amakumi ana emisana n'ekiro.