Exodus 24:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa yekka ye w'okusemberera Omukama; abalala tebasembera; n'abantu tebambuka naye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa yekka y’anaansemberera; abalala tebasembera. Era abantu tebasaana kujja naye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ggwe wekka Musa, ggw'oba onsemberera; naye bali baleme okusembera, era n'abantu baleme okwambuka awamu naawe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe wekka, ggwe onoosembera we ndi, naye abalala, tebasembera. Abantu baleme kwambuka ku lusozi wamu naawe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa yekka asemberere Mukama; naye bo baleme okusembera so abantu baleme okulinnya awamu naye.