Exodus 24:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'ajja n'abuulira abantu byonna Omukama by'agambye n'amateeka gonna; abantu bonna ne baanukula n'eddoboozi limu, ne bagamba nti: “Byonna Omukama by'atugambye tujja kubikola.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’ajja n’ategeeza abantu ebigambo byonna Mukama bye yamugamba awamu n’amateeka ge gonna. Abantu bonna ne baddiramu wamu ne bagamba nti, “Ebigambo ebyo byonna Mukama by’agambye tunaabikola.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'ajja n'agamba abantu ebigambo byonna ebya Mukama, n'amateeka gonna; abantu bonna ne baddamu n'eddoboozi limu, ne boogera nti, “Ebigambo byonna Mukama by'ayogedde tulibikola.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'ajja, n'ategeeza abantu byonna Mukama by'agambye ne by'alagidde. Abantu bonna ne baddiramu wamu nga bagamba nti: “Ebyo byonna Mukama by'ayogedde tujja kubikola.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'ajja n'agamba abantu ebigambo byonna ebya Mukama, n'emisango gyonna: abantu bonna ne baddamu n'eddoboozi limu, ne boogera nti Ebigambo byonna Mukama by'ayogedde tulibikola.