Exodus 24:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'awandiika ebigambo by'Omukama byonna; ku makya bwe yazuukuka, n'azimba omwaliiro wansi w'olusozi; n'amayinja ageesimbye kkumi n'abiri ku lw'ebika ekkumi n'ebibiri ebya Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Musa n’awandiika ebigambo byonna Mukama bye yayogera. Awo Musa n’akeera mu makya n’azimba ekyoto awo wansi w’olusozi; n’asimbako n’empagi kkumi na bbiri ng’ebika bya Isirayiri ekkumi n’ebibiri bwe byali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'awandiika ebigambo byonna ebya Mukama, n'agolokoka enkya mu makya, n'azimba ekyoto wansi w'olusozi, n'empagi kkumi na bbiri (12), ng'ebika ekkumi n'ebibiri (12) ebya Isiraeri bwe biri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'awandiika byonna Mukama by'ayogedde. N'agolokoka enkya mu makya, n'azimba alutaari wansi w'olusozi, n'empagi kkumi na bbiri, olw'ebika ekkumi n'ebibiri ebya Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'awandiika ebigambo byonna ebya Mukama, n'agolokoka enkya mu makya, n'azimba ekyoto wansi w'olusozi, n'empagi kkumi na bbiri, ng'ebika ekkumi n'ebibiri ebya Isiraeri.