Exodus 24:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'addira ekyokubiri ky'omusaayi n'akissa mu lutiba, ekirala n'akimansira ku mwaliiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’addira ekitundu ky’omusaayi n’akissa mu mabeseni, n’ekitundu ekirala n’akimansira ku kyoto.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'atwala ekitundu ky'omusaayi, n'akifuka mu bibya; n'ekitundu ekirala eky'omusaayi, n'akimansira ku kyoto.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'addira ekitundu ekimu eky'omusaayi, n'akiteeka mu bibya, ekitundu ekirala n'akimansira ku alutaari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'atwala ekitundu ky'omusaayi, n'akifuka mu bibya; n'ekitundu ky'omusaayi, n'akimansira ku kyoto.