Exodus 24:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'addira Ekitabo ky'Endagaano n'akisomera abantu nga bawuliriza; ne bagamba nti: “Tujja kukola byonna Omukama by'alagidde; tunaawuliranga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’asitula Ekitabo ky’Endagaano, n’akisomera abantu nga bonna bawulira. Ne bagamba nti, “Ebyo byonna Mukama by’agambye tujja kubikola; era tunaamugonderanga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'atoola ekitabo eky'endagaano, n'akisomera abantu; ne boogera nti, “Byonna Mukama by'ayogedde tunaabikolanga era tunaabigonderanga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'akwata ekitabo eky'endagaano, n'akisoma ng'abantu bawulira. Abantu ne bagamba nti: “Byonna Mukama by'ayogedde tujja kubikola era tunaabanga bawulize.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atoola ekitabo eky'endagaano, n'asoma mu matu g'abantu: ne boogera nti Byonna Mukama by'ayogedde tulibikola, era tuliwulira.