Exodus 24:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Musa n'addira omusaayi n'agumansira abantu, n'agamba nti: “Guno gwe musaayi ogw'endagaano Omukama gy'akoze nammwe mu bigambo bino byonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’addira omusaayi n’agumansira ku bantu, n’agamba nti, “Guno gwe musaayi gw’endagaano Mukama Katonda gye yabalagira okukwata.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'atoola omusaayi, n'agumansira ku bantu, n'ayogera nti, “Laba omusaayi ogw'endagaano, Mukama gy'alagaanye nammwe mu bigambo bino byonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Musa n'addira omusaayi oguli mu bibya, n'agumansira ku bantu, n'agamba nti: “Guno gwe musaayi ogukakasa endagaano Mukama gy'akoze nammwe mu bigambo byonna by'ayogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'atoola omusaayi, n'agumansira ku bantu, n'ayogera nti Laba omusaayi ogw'endagaano, Mukama gy'alagaanye nammwe mu bigambo bino byonna.